Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu Buganda Land Board busabye ministry y’ettaka esazeemu ekyapa kya Hamis Kiggundu okutudde ekizimbe kya Ham towers.
Obwakabaka bugamba nti ekyapa kino ekiri ku block 9 plot 923 Ham yakifuna mu bukumpanya nga kyakolebwa waggulu ku Kyapa kya Kabaka ekya block 9 plot 440 nga tafunye lukusa lwa Kabaka.
Omwogezi wa Buganda Land Board Dennis Bugaya agamba nti bafubye okulambika Kiggundu yetereeze naye yeremye kati basazeewo ekyapa kisazibwemu kuba kyebasigaza okukola.