OBWENZI! Landiloodi asimatuse emiggo gy’omupangisa, akwatiddwa lubona ng’akoomba essowani ya mukyala we mu kibuga

Landiloodi asimatuse emiggo gy’omupangisa era adduse okufuluma ggeeti, okutya nti omusajja ayinza n’okumutta Kigambibwa maana Richard aludde ng’ategeeza bba taata Richard, nti Landiloodi aludde ng’amusaba omukwano nga yeekwasa nti bba alemereddwa okusasula ssente z’obupangisa.

Omukyala agamba nti ku Lwokusatu akawungeezi yafuna mesegi okuva ew’a Landiloodi ng’asaba mukwano era yamusuubiza okuggya ku Lwomukaaga mu kiseera nga bba agenze kulaba mupiira gwa Arsenal ne AFC Bournemouth.

Maama Richard yalaga bba mesegi ya Landiloodi ne bateese okuyita Landiloodi, okusobola okumukwata.
Ku ssaawa nga 8 ez’emisana, Landiloodi yabadde atuuse nga yefuula ayagala ssente ze nnyumba.

Bba taata Richard yabadde mu ddiiru, okuyita Landiloodi okumuswaza mu bantu ku abadde asukkiridde okuganza bakabasajja.
Landiloodi yabadde asuubira okulya ebintu era yabadde alina obupiira mu nsawo wabula yabadde yakatuuka mu kisenge ku buliri bw’omusajja, Taata Richard yakomyewo era yatuukidde mu kisenge.

Taata Richard yabadde akutte ejjambiya okutematema Landiloodi wabula ng’omusajja obwenzi, Landiloodi yasobodde okusaba ekisonyiwo kuba wadde akoze ensobi, yetaaga obulamu.

Yasuubiza okuwa omusajja omuzigo nga tewali kusasula okumala emyaka 5 kyokka wakati mu kuteesa, abantu beyongedde okungaana omuli ne ssentebe w’ekyalo.

Wakati mu kuswala, Landiloodi yakkiriza okuwaayo omuzigo gwe okumala emyaka 7 nga tewali kusasula era amangu ddala yasobodde okudduka kuba yabadde amaze okuswala.

Buli mwezi, taata Richard, abadde alina okusasula ssente emitwalo 200,000 ez’okupangisa ennyumba mu bitundu bye Kavule Kawempe, omwaka 2,400,000.

Mu myaka 7, awonye okusasula ssente 16,800,000 anti essowani y’omukyala emuwadde essanyu.
Ebirala ebifa mu ggwanga

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin