Katikiro Charles Peter Mayiga Atongonza Enkola ya Yinsuwa “Weerinde Insurance Services”

MENGO: Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu okwettanira enkola ya Yinsuwa esobole okubabeerera engabo singa babaako okusoomoozebwa kwe basanga mu ntambuza y’emirimu gyabwe awamu n’obulamu bwabwe, kibayambe obutafiirizibwa.

Bino Owek. Mayiga abyogedde atongoza kkampuni y’Obwakabaka eya Yinsuwa eya Weerinde Insurance Services  (WISE) ku Muganzirwaza  e Katwe mu Kampala ku Lwokuna.

“Ku mulundi guno tusazeewo okuleeta obuweereza mu kisaawe ekya Yinsuwa ng’obuweereza buno tubuyisa mu Weerinde Insurance Services. Aboogezi abansoose batubuulidde nti bbizineesi ya Yinsuwa ekola ng’engabo. Omutabaazi, omulwanyi oba omujaasi teyagendanga mu lutalo nga talina ngabo. Engabo ye yatangiranga amafumu n’obusaale okufumita omulwanyi,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga agamba nti Buganda ey’omulembe Omutebi yeetaaga abantu abakozi era abanyiikivu, abatakoowa okukola emirimu nga okulima, okusuubula oba okuzimba amayumba n’emirimu emirala gyonna naye nga gino gyetaaga engabo eya Yinsuwa.

“Bbizineesi zeetaaga engabo. singa bbizineesi ekosebwa olw’ebigwa bitalaze, olwo Yinsuwa eyingirawo nga bakuliyirira.” Owek. Mayiga bw’agasseeko.

Ono abantu abawadde amagezi okwettanira Yinsuwa era n’ategeeza nti Weerinde egenda kuyambako abantu abeetaaga obukuumi obutali bwa ngeri zimu kwe kubagatta ku kkampuni za Yinsuwa basobole okutambuza emirimu gyabwe obulungi.

Owek. Mayiga asabye abalondeddwa okukulira kkampuni eno babangule abantu ku  nteekateeka za  Yinsuwa ez’enjawulo omuli ey’obulamu, ebisale by’abaana awamu n’endala kuba abantu beetaaga okubitegeera balyoke babyeyunire.

Katikkiro Mayiga akunze abantu abatambuza ebintu ebyenjawulo awamu n’abaagala okwekuuma obulamu bwabwe okweyambisa omukisa guno ogwa Weerinde bafune amagezi awamu n’okuyambibwa okw’engeri ezitali zimu.

Mu ngeri  yeemu akubirizza  abakulembeze n’abakozi mu yinsuwa  y’Obwakabaka nga baweereza, okukulembeza Obwerufu  nga mu kino lwe bajja okusobola  okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa.

Ye Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert waggwa  Nsibirwa asabye abakozi mu Weerinde Insurance Services ku bukozi okugattako obuyiiya  okulaba nga yinsuwa  egenda mu maaso wamu n’okukula.

Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa  Weerinde Insurance  Services, Dr. Evelyn  Kigozi Kahiji  wamu ne ssenkulu  wa Weerinde,  Jennifer Mirembe Ssensuw,  baweze okukola obutaweera okulaba nga Yinsuwa y’Obwakabaka  eyitimuka   wamu n’okuggyayo ekigenderrwa kyayo  okuzza Buganda ku ntikko.

Omukolo guno gwetabiddwako bannamikago okuva mu Yinsuwa ez’enjawulo nga bakulembeddwamu  Ssenkulu w’ekitongole ekigatta Yinsuwa  zonna mu ggwanga  ekya Insurance Regulatory Authority Of Uganda ( IRA), Al-hajji Kadunabi Lubega  era ono yeebazizza Obwakabaka okutandikawo Yinsuwa gy’agambye nti  yaakubaako ettoffaali  ddene ly’egatta ku  nkulaakulana y’ekisaawe kya yinsuwa  n’eggwanga  okutwaliza awamu.

**gambuuze

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin