WAYA! Wuuno omulenzi akoze likodi, ku myaka 17 attise abakyala 10 embutto lwa ssente

Poliisi mu ggwanga erya Nigeria, eyongedde ekikwekweeto ku Fakitole ebadde epangisa abakyala okuzaala, abaana ab’okutunda. Fakitole ebadde yateekebwa mu ssaza lye Rivers era ebadde efuna abakyala ab’enjawulo.

Okunoonyereza kulaga nti abakulu mu fakitole baafuna omulenzi myaka 17 okutikka abakyala embutto era Poliisi weyatuukidde okuzuula ekifo, ng’abakyala 10 bali mbuto.

Omulenzi abadde afuna ssente za buli mwezi, ng’omulimu gwe, buli mukyala aleetebwa, alina okufuna olubuto mu nnaku ntono.

Buli mukyala singa afuna olubuto n’azaala, abadde afuna omusaala gwa mitwalo 50 eza Naira. Abaana baludde nga batundibwa n’okusingira ddala mu nsi z’ebweru.

Wabula Poliisi egamba nti eyongedde okunoonyereza nga bannanyini Fakitole babiri (2) bakwatiddwa ssaako n’omukyala Peace Alikoi myaka 40 abadde anoonya abakyala ab’okutikka embutto.

Omulenzi ku myaka 17, agamba nti omulimu gwe, abadde akeera kulinda bakyala abaleteddwa ssaako n’abo, abatannafuna mbutto, okulaba nga bazifuna.

Kigambibwa fakitole ebadde yakamala ebbanga lya myaka egisukka 5 era abasukka abasukka 40 nga bazadde abaana ne batwalibwa. Mu kiseera kino Poliisi egamba nti erina okunoonyereza okuzuula abakyala bonna abaludde nga bakola omulimu ogwo.

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin