EBYA PRESSURE 24/7 BIBI NYO | Court egaanye omuyimbula bamusabye obukadde 30m ne kyaapa kyetaka ekiri mumanya ge ngate musajja watu ne mutwalo 30 tagikwatangako

Ibrahim Musana aka Pressure 247 akomezeddwawo mu Kkooti olunaku olwaleera wabula okusinziira ku alipoota yomuwaabi wa Gavumenti Richard Birivumbuka eraga nti abantu 2 beyaleeta okumweyimirira ne Musana yennyini tebirina bifo byankalakkalira webabeera.
Ono agamba nti nokumuyimbula kyabulabe nnyo olwabantu beyavuma abomugaso ennyo nga okumukuumira mu kkomera kimutaasa.
Q
Ono ayongeddeko nti Kkooti bweba esazeewo kumuyimbira lwakiri asasule obukadde 30 mu buliwo ssaako nokuwaayo ekyapa ky’ettaka ekiri mu mannya ge.
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi agaanye okusaba kwa Musana Ibrahim aka Pressure 247 okwokweyimirirwa nga agamba nti talina kifo kituufu wabeera nga nabwekityo tasobola kumuyimbula kuba tebalina gyebanamunoonyeza singa abulawo.
Omulamuzi ategeezezza nti Pressure yagamba Uganda Police Force nga bwabeera e Kawuga mu Disitulikiti y’e Mukono nti wabula mu Kkooti baleese ebbaluwa nga ewandiikiddwa Ssentebe wa LC1 owa Church Zone e Najjanankumbi eyamwegaanye oluvannyuma. Era Pressure yalaze nti abeera Budaka, Maama we gyabeera.
Bya Christine Nabatanzi

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin