Poliisi y’e Luweero ekutte omuntu omu ku misango gy’okutta omutuuze Stephen Achoda abadde mu gy’obukulu 50. Achoda abadde mutuuze ku kyalo Kiiso mu tawuni Kanso ye Kamira mu disitulikiti y’e Luweero era omu ku balimi abagundivu.
Yattiddwa nga yatemeddwa ku bulago, olubuto n’emikono, bwe yabadde agezaako okulemesa ababbi okutwala ebintu bye omuli kasooli, ebijanjaalo n’eggaali, maanyi ga kifuba. Ababbi, baasobodde okumenya ne bayingira mu nnyumba ne batwala ebintu, Achoda kwe kubalinya akagere, okuzuula abenyigidde mu kutwala ebintu bye.
Wabula yabadde yakazuula ebijanjaalo, kasooli n’eggaali nga biteekeddwa mu nsiko ng’amaze okuyita abatuuze okuyamba okubitwala awaka, asigale ng’anoonya ebisigadde, abatuuze olw’agenze, abatemu kwe kumuzingiza ne bamutta.
Abatuuze , okudda okunoonya munaabwe nga z’embuyaga ezikunta, ekyalese abatuuze nga bali mu kiyongobero. Wadde abatuuze baasobodde okusamba ensiko okunoonya abatemu, tewali muntu yenna yazuuliddwa era olunnaku olw’eggulo, Poliisi yakkiriza famire okutekateeka emikolo gy’okuziika.
Okusinzira ku muddumizi wa Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero Living Twazagye, mu kunoonyereza waliwo omuntu akwattiddwa amannya gasirikiddwa, nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe. Twazagye awanjagidde abatuuze abalina amawulire ku nsonga z’okutta Achoda okuvaayo okuyamba ku Poliisi okuzuula abatemu.
Ate bbo, abatuuze bagamba nti ababbi, beyongedde mu kitundu kyabwe nga batwala buli kantu n’okusingira obudde obw’ekiro nga beyongedde okumenya amayumba. Abatuuze bawanjagidde ekitongole ekya Poliisi, okwongera amaanyi ku nsonga y’okunyweza ebyokwerinda mu kitundu.