AKAMANYIIRO KAKOME: Asimbiddwa mu KKOOTI ya Buganda Road n’ategeeza nga bwaliko empewo ezimulinnya n’avuma Kabaka agagambo agatayisika mu kamwa.

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Kayizzi Ronald asindise Musana Ibrahim aka Pressure 247 ku alimanda okutuusa nga 7-March-2024.
Ono eyali yegumbulidde okuvuma Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku Tiktok avunaaniddwa emisango okuli okuvvoola wamu n’okusiga obukyaayi ku Kabaka wa Buganda ne Pulezidenti Museveni.
Wabula Musana ategeezezza omulamuzi nti ye byeyakola mu butambi obugambibwa okusiga obukyaayi ku bakulembeze 2 teyakimanya nti yali azza musango kuba alina ekizibu ku bwongo nti era yali yakava mu Ddwaliro e Butabika.
Ono ayongeddeko nti emizimu gya Bassekabaka gimusumbuwa nga gimulagira okuddaabiriza amasiro nti wabula awandiikidde Buganda amabulawa agawerako ngabategeeza nti talina nsimbi zakudaabiriza masiro wabula nga tebamwanukula.
P

 

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin