Omusajja ayokeza emotokaye eya Toyota Wish nga agamba akooye Poliisi okumuyiganya olw’okuba musiraamu

Omusajja Suudi Balidawa ng’ono akola obwa Makanika mu Elegu e Gulu yekyaaye nayokya emmotoka ye Toyota Wish nnamba UBE 852E nga agamba akooye Poliisi okumuyiganya olw’okuba musiraamu.

Balidawa ategeezezza nti obuzibu bwava ku kutomera omukyala e Kanyanya mu Kampala bweyali atwala muwala we mu Lacor Hospital.

T

Balidawa agattako nti omukyala ono yamutwala mu ddwaliro e Mulago era nakkaanya nabafamire okumujjanjaba nga yasooka kuwaayo akakadde kamu nga abadde alina okusasula obukadde 3 mu nnaku 25 zikole ku bujjanjabi.

Ono agamba nti yafuna essimu okuva ku Poliisi nebamulagira yeyanjule ku poliisi emuliraanye era neyetwala ku Poliisi y’ Elegu naggulwako omusango gw’okutomera omuntu ku nnamba TAR27A/2024 era nateebwa ku kakalu ka Poliisi

naye okuva olwo azze akwatibwa Poliisi mu Elegu ne Kanyanya naye buli mulundi nga bamulangira n’okumubuuza lwaki abasiraamu balina omutima omubi nga nekisembyeyo kwekumulagira obutafulumya mmotoka eno mu kibuga Elegu ekimuletedde okwekyawa.

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin