Wuuno Eyaliisizza omwana empitambi poliisi emukutte

Poliisi y’e Masaka ekutte omukazi eyalabikidde mu katambi akasaasanidde ku mikutu gya Social Media ngasiiga omwana empitambi kko n’okugimuliisa.

Omukwate ye Stella Namwanje nga mutuuze ku kyalo Binyonyi A mu Nyendo e Masaka era nga omwana gwe yakikoze wa mukwano gwe era muliraanwa we.

Ayogerera Poliisi mu kitundu kye Masaka agamba nti batandise okunoonyereza okuzuula oba ng’omukazi ono aludde ngakola ebikolwa nga bino ku mwana oba kyabaddewo omulundi gumu .

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin