Eddy Kenzo atabukidde Maurice Kirya lwa Lydia Jazmine

Kirabika tewali muntu yenna yandibadde atabulatabula linnya lya Lydia Jazmine nga Kenzo akyaliwo. Kati bboosi wa Big Talent asazeewo okumanyisa enneewulira ze ku muyimbi omulala, Maurice Kirya bye yayogera gye buvuddeko ku Lydia Jazmine.

Kirya bwe yalabikira ku Galaxy FM wiiki ntono emabega, yategeezezza nti ennyimba za Lydia Jazmine tazimanyi. It’s rather her photos by’amanyi bulungi kuba bisigala birabika ku timeline ye.

Kino tekyagenda bulungi ku Bannayuganda abawerako abaakubye omuyimbi ono. Kenzo ye muntu omulala eyasanze ebigambo bino nga temuwa kitiibwa. Ng’alabikira ku leediyo y’emu, Kenzo yavuddeyo n’akuba Kirya olw’okugezaako okweyisa nga cool.

“Maurice kirya yayagala kweyisa ng’omwana omwana atalina ky’amanyi ku ttaka. Nanyiiga nnyo bwe yagamba nti talina muziki gwa Lydiah Jazmine gw’amanyi” Kenzo bwe yategeezezza ng’alabikira ku Galaxy FM’S Evening Rush.

Kirya mu kiseera kino oluvannyuma yavuddeyo n’atangaaza ku by’ayogedde. Yagambye nti abantu baamutegeera bubi. Ate Kenzo ne Jazmine babadde bayiting’ana nti buli omu alina ekintu eky’ekyama eri munne.

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin