Owa 6 ‘pack’ akiguddeko, bamukutte lubona ku rawundi esooka ng’asinziira okugikuba mu kabutobuto

Omuvubuka ali mu myaka 30 akiguddeko, bamukutte lubona ng’ali mu laavu ne muk’omusajja.
Omusajja ategerekeseeko erya Mike ng’avuga bodaboda agamba nti abadde afuna amawulire nti mukyala we, alina abasajja abalala.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, omukyala yabadde alowooza nti bba Mike agenze kulaba kapiira wakati wa Morocco ne Spain. Mu kiseera ng’omupiira gugenda mu maaso, omukyala yasobodde okuleeta omusajja owa owa 6 ‘pack’ mu nju ya bba.


Mu kitundu ky’omuzannyo ekisooka, nga zigenda mu ssaawa 1 ey’ekiro, Mike yakomyewo awaka kyokka yatuuse awaka ng’omukyala yesibidde mu nnyumba. Okuyita omukyala nga yenna ali mu kutya, kwe kutegeera nti waliwo obuzibu, mu nju mulimu omusajja omulala.

Mike yasobodde okuyita abatuuze okulaba ebigenda mu maaso, omukyala okumujooga okuleeta omusajja mu nju, ku kitanda kyabwe. Omukyala okuggulawo oluggi, nga kituufu omukyala abadde n’omusajja mu nnyumba lubona, wakati mu kusinda omukwano.

Mike wakati mu batuuze, alagidde mukyala okuva mu makaage kuba kati afunye omusiguze, omusajja omulala.

Ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, omukyala yalabiddwako ng’ava ku kitundu, wakati mu batuuze okusakaanya.
Embeera eno, yabadde ku kyalo Ssanga, ku luguudo lwe Semuto mu disitulikiti y’e Wakiso.

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin