GIWUNYE! Yunivasite eweze eky’abayizi okwambala enkunamyo, abalenzi ‘damage’ ziwereddwa

University of Eldoret mu ggwanga erya Kenya, eweza eky’abayizi okudda ku yunivasite nga bayambadde obugoye bu kokoonyo. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa akulira eby’okusoma ku Yunivasite, abayizi bonna, abawala balina okwewala okwambala obugoye obumpi, engoye ezitangaala, engoye ezibakwata ennyo ssaako abasajja, balina okwewala okwambala empale z’ebituli ezimanyiddwa nga Damage.

Mu kiwandiiko, abayizi balabuddwa nti omuyizi yenna okugyemera okuteeka mu nkola ebiragiro, tewali kumuttira ku liiso nga kikoleddwa, okulaba nga batangira ebiyinza okutaataganya abayizi nga basoma.

Waliwo ebigambibwa nti embeera ebadde esukkiridde ng’abayizi begumbulidde okwambala mu ngeri ewebuula ekitiibwa kya Yunivasite.

Ate munnamawulire mu ggwanga erya Cameroon asangiddwa nga mufu oluvanyuma lw’okuwambibwa akawungeezi k’olunnaku olw’okubiri wiiki ewedde.

Martinez Zogo abadde direkita wa Amplitude FM era abadde akubiriza Pulogulamu Embouteillage ebadde esinga amaanyi ku laadiyo.

Zogo abadde avuddeyo nnyo ku nsonga y’abakulu mu Gavumenti okwenyigira mu kulya enguzzi n’abamu ku basuubuzi mu ggwanga lya Cameroon.

Omulambo gwa Zogo guzuuliddwa nga gusuuliddwa ebbali w’ekkubo okumpi n’ekibuga Yaounde.

Bannamawulire basabye Poliisi okunoonyereza okutuusa nga bazudde abatemu abenyigidde mu kutta omuntu waabwe.

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin