Poliisi ekutte omusajja myaka 24 ku misango gy’okusinda omukwano ne muk’omusajja mu ddwaaliro ate ng’omukyala wa lubuto. Omusajja omusiguze myaka 24 nga mwoki wa nnyama, asangiddwa lubona ng’ali mu kwesa mpiki ne muk’omusajja mu ddwaaliro lya Apac mu disitulikiti y’e Apac.
Omukyala, yatwaliddwa mu ddwaaliro ng’afunye omusujja gw’ensiri ennaku 5 eziyise. Wabula bba Alex Okuta nga mutuuze ku kyalo Chegere mu disitulikiti y’e Apac, bwe yabadde agenze mu ddwaaliro okulambula ku mukyala we, ate yazze mu kulukusa amaziga.
Okuta agamba nti yatuuse mu kisenge ky’eddwaaliro ng’omukyala empuuna ye, eraga nti obulwadde bweyongedde kyokka okubikula kateni, nga walayi, bali mu kusinda omukwano.
Ate akulira eddwaaliro Joseph Onuk, avumiridde eky’omukyala okuleeta omusajja mu ddwaaliro ne badda mu kwerambuza ebyalo.
Mu ngeri y’emu Onuk atabukidde eky’abasajja okwefuula nti bakola nnyo ne balemwa okulambula ku bakyala nga bali mu ddwaaliro.
Agamba nti kiswaza omusajja okumala ennaku 5 nga talinye mu ddwaaliro okulambula ku mukyala we nga y’emu ku nsonga lwaki n’omukyala yafunye omusiguze, eyamuwadde ddoozi, eyabadde ebulako, okuwona obulwadde.