BAMBI! Omuvubuka myaka 24 akubiddwa emiggo 50 mu lwatu mu maaso ga muganzi we, akaabye

Omuvubuka myaka 24 Bryan Wangwe, nga mutuuze ku kyalo Bumusomi mu ggoombolola y’e Namabya mu disitulikiti y’e Namisindwa, akubiddwa kibooko 50 wakati mu lukiiko lw’ekyalo.

Okusinzira ku Yusufu Blenda, omu ku batuuze, Wangwe yeenyigidde mu kubba Ente y’omu ku batuuze ategerekeeseko erya Maresi mu ggoombolola y’e Magale. Maresi, yasobodde okulondoola ebigere by’ente, okutuusa lwe yazuuliddwa nga Wangwe, agikwese okumpi n’awaka.

Amangu ddala olukiiko lw’ekyalo lwayitiddwa okubuulirira Wangwe, okwesonyiwa emizze gy’obubbi. Wabula olw’okuswala, yaddukidde mu nju ya kitaawe era amangu ddala yakutte akatimba k’ensiri, okwagala okwetta.

Kitaawe yakubye enduulu, eyasombodde abatuuze era amangu ddala bazzeemu okuyita olukiiko lw’ekyalo ne bakaanya Wangwe okumukuba emiggo 50.

Omuvubuka Wangwe akubiddwa kibooko wakati mu kulukusa amaziga n’okulajjana bw’asuubiza abatuuze nti si wakuddamu kulowooza ku nsonga ya kwetta.

Ssentebbe w’ekyalo James Khaukha, agamba nti Wangwe akubiddwa kibooko, okumusomesa nti kikyamu, omuntu yenna okulowooza okwetta, ekintu ekiyinza okuleeta ekisiraani ku kyalo.

Ate taata eyakwatiddwa ku misango gy’okusobya ku bawala be, yegaanye emisango gyonna era atabukidde abaana be. Taata ono James Biryabarema nga mutuuze we Biina e Nawaka mu Kampala, yakwatiddwa ku by’okusobya ku baana be okuli ow’e 15 ne 17.

Abaana baddukidde eri omuwandiisi w’abakyala ku kyalo Zainab Mirembe, nga bakooye kitaabwe okubakozesa era amangu ddala Biryabarema yakwatiddwa ku wikendi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abaana bagiddwako sitetimenti era baakebeddwa nga ddala kituufu, baludde nga bakozesebwa.

Taata abadde abeera n’abaana emyaka egisukka 3 yekka wabula abaana bakyagaanye okwatuukiriza ebikwata ku nnyabwe. Wabula mu kugibwako sitetimenti ku kitebe kya bamenga e Kibuli, taata yegaanye okudda ku baana be okubasobyako.

Wadde taata aguddwako emisango 6 egy’okusobya ku baana abato, azzeemu okwegaana emisango gyonna nga bwe yakola ng’ali ku Poliisi y’e Kitintale era agamba nti abaana bagezaako kumuwayiriza. Okunoonyereza, kukyagenda mu maaso ku nsonga ezo.

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin