NAYE ABASAJJA! Omugole owa wiiki emu bamukwatidde mu bwenzi ng’omuwala agimuwadde yonna ogusembayo

Omusajja omugole ali mu myaka 30 akiguddeko, bamukwatidde mu bwenzi ng’ali mu kusinda mukwano. Omugole ategerekeseeko erya Katende aswadde mu maaso ga mukyala we ssaako n’abatuuze ku kyalo Kasana mu disitulikiti y’e Luweero.

Sabiiti ewedde ku Lwomukaaga nga 7, Janwali, 2023, omukyala amanyikiddwa nga Stella ali mu myaka 27, yayanjula bba Katende mu bazadde ku kyalo Semuto mu ggoombolola y’e Semuto mu disitulikiti y’e Nakaseke ate enkera ku Ssande yali mbaga.

Yazzeemu okufuna essimu nga bba, awonye okuttibwa olw’obwenzi. Abatuuze bagamba nti omuwala abadde ne ‘Boyfriend’ we kyokka kigambibwa era abadde ayagala ne Katende.

Olwa Katende okuwasa omukyala, mbu yabadde alina okusiibula omuwala mu butongole. Wakati mu kusinda omukwano, ‘Boyfriend’ yabakutte lubona.

‘Boyfriend’ wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yakubye essimu nga muganzi we takwata kwe kufuna bodaboda okugenda awaka. Okutuuka awaka, ng’ali mu kaboozi era yakubye enduulu eyasombodde abatuuze. Omusiguze okuva mu nnyumba, nga ye Katende omugole era bangi ku batuuze baamutabukidde mu lwatu.

Wakati nga Katende asaba okusonyiyibwa, Stella yatuuse era wakati mu kulukusa amaziga, yasabye bba okumwesonyiwa. Katende yavuddewo okudda awaka wakati mu kuswala nga n’omukyala Stella asobeddwa eka ne mu kibira.

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin