ETTEMU E MASAKA: Police etandise okunoonyereza ku ttemu elyakoleddwa e Bisanje

ETTEMU E MASAKA: Police etandise okunoonyereza ku ttemu elyakoleddwa e Bisanje Police e Masaka etandise okunonyereza ku ttemu elyakoleddwa ku muvubuka owe myaka 22 eyattiddwa mu bukambwe ku kyaalo Bisanje West mu division eya Kimaanya-Kabonera.

Eyattiddwa ye Bashir Matovu mutabani w’omwaami Muyunga Bullhan amanyikiddwa ennyo nga Jjajja w’abaana n’omukyaala Nante Fatumah nga batuuze bo ku kyaalo Bisanje West.

Matovu yasangiddwa ku lwokubiri nga agangalamye mu nnimiroye era nga abeerabiddeko n’agaabwe bategeezezza nti alabika yatugiddwa abantu abatanategerekeka kubanga omulambo tegwasangidwaako biwundu. Bashir Matovu yoomu ku babadde bavunanyizibwa kubyokwerinda e Bisanje.

Ssentebe w’ekyaalo Bisanje West Kizito Joseph ategeezezza nga bweyakimanyaako nti omugenzi Matovu Bashiru yali atisiibwatisiibwa okuttibwa abaali ababbi b’embuzi abaali baakwaatibwa gyebuvuddeko, kyokka oluvannyuma nebateebwa ku kakalu ka Police.

Akola nga omwogezi wa Police mu bbendobendo ly’eMasaka SP Twaha Kasirye agambye nti police erina omuntu omu gweyakutte kubyekuusa ku ttemu lino ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso era omulambo Police yagututte mu ddwaliro ekkulu e Masaka okwongera okwekebejjebwa.

Bisanje, gwegumu ku miruka egyakosebwa enyo mu biseera byebijambiya ebyakyaaka e Masaka mu 2021.

 

EKIFANANYI: Police ngetikka omulambo gwa Matovu ku Kabangali

Bya Musasi waffe

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin