OBWENZI! Wuuno Omusajja ‘A Tatya Danger’ Bamukutte Ne Muk’omusajja Mu Lodge Ngatwala Ziri Embi Mu Rawundi Eyokusatu, Bamukubye Kibooko 50.

Omusajja abadde asigula bakabasajja akiguddeko, akubiddwa kibooko 50, oluvanyuma agobeddwa ku kyalo mu disitulikiti y’e Nakaseke. Ku kyalo Mugomola mu Tawuni Kanso y’e Semuto, omusajja Fred ali mu myaka 40 agobeddwa ku kyalo, ekiwadde abatuuze essanyu.

Omusajja Fred abadde afuuse mukoko mu kuganza bakabasajja era akwatiddwa lubona ng’ali mu bwenzi, emirundi egiwerako. Akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, omu ku batuuze  ategerekeseeko erya Nsereko, yakutte mukyala we maama Jane ng’ali mu kaboozi ne Fred mu loogi.

Nsereko agamba nti abadde afuna amawulire nti Fred ayagala mukyala we okutuusa lwe yafunye essimu okuva eri mukwano gwe nga Fred ayingidde mu loogi ne mukyala we.

Oluvanyuma lwa Nsereko okukwata Fred ne mukyala we, yakubye enduulu, eyasombodde abatuuze bonna. Nsereko agamba nti wadde mukyala we yakoze ensobi, okudda mu bwenzi, akyamwagala era yamusonyiye.

Amangu ddala, ssentebe w’ekyalo Kalyango, yasobodde okuyita olukiiko lw’ekyalo (kkooti y’ekyalo), okuteesa ku nsonga za Fred.

Mu kkooti y’ekyalo, abatuuze bakaanyiza era Fred yagobeddwa ku kyalo wakati mu batuuze okusakaanya nti bakooye obwenzi ku kyalo kyabwe. Ku ssaawa nga 1 ey’ekiro, Fred yakutte ebintu bye okuva ku kyalo nga tewali ayinza kutegeera yaddukidde ku kyalo ki.

Fred abadde yakamala ku kyalo emyaka 3 wabula abadde akoze bulungi nnyo mu kwebaka ne bakabasajja era kigambibwa abadde yakasigula abasukka mu 4.

Okuva ku kyalo, abasajja kati bafunye ku ssanyu era kati bafunye ku mirembe kuba abadde kafulu eri bakyala baabwe, yagobeddwa.

Nsereko ne maama Jane balina abaana basatu. Ssentebe alabudde abavubuka n’abasajja okuwasa oba okwesonyiwa bakabasajja nga tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso.

Loading

Recommended For You

kakande

About the Author: kakande