EDOGO! Bayiye omusaayi n’ebiragalalagala mu wofiisi ya Mayor Walukagga

Entiisa ebutikidde abakulembeze ba Kyengera Town Council bwebatuuse ku kitebe kya Town Council eno nga wofiisi zabwe zimansiddwako omusaayi n’ebiragalalagala n’ekigendererwa ekitanamanyika.

Ofiisi esinze okuyiibwako ebintu enyo ye ya Mayor wa Kyengera Town council Omuyimbi Mathius Mulumba Walukagga.

Mayor agambye nti tebanazuula bakoze kikolwa kino ekiteeberezebwa okubeera ekya kalogo kalenzi, wabula nti bagenda kukolegana ne police okwekebejja camera ezassibwa ku town council bakwatibwe.

Loading

Recommended For You

admin

About the Author: admin